1 Kings 1:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nzija kukola olwa leero nga bwe nakulayirira mu maaso g'Omukama, Katonda wa Yisirayeli nti: ‘Solomoni mutabani wo y'aliba kabaka anansikira, yennyini n'atuula ku nnamulondo yange mu kifo kyange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka mu kifo kyange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mazima nga bwe nnakulayirira Mukama, Katonda wa Isiraeri, nga njogera nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange mu kifo kyange; mazima bwe ntyo bwe nkulayirira ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mazima olwaleero nja kukola nga bwe nakulayirira Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nti Solomooni mutabani wo ye alinsikira ku bwakabaka, era ye alidda mu kifo kyange, atuulenga ku ntebe yange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mazima nga bwe nnakulayirira Mukama, Katonda wa Isiraeri, nga njogera nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange mu kifo kyange; mazima bwe ntyo bwe nnaakola leero.