1 Kings 1:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kwambuka naye; anajja n'atuula ku nnamulondo yange; yennyini y'anaafuga mu kifo kyange. Oyo mmulonze abeere omukulembeze wa Yisirayeli ne Yuda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwambuke naye, atuule ku ntebe yange ey’obwakabaka era afuge mu kifo kyange. Mmufudde omukulembeze wa Isirayiri ne Yuda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulyoke mukomewo nga mumugoberera mu mutuuze ku ntebe yange abeere kabaka mu kifo kyange: era mmutaddewo okuba omufuzi wa Isiraeri ne Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo mulyoke mwambuke, nga mujja mumugoberera, ajje wano, atuule ku ntebe yange ey'obwakabaka, abe kabaka mu kifo kyange, kubanga ye gwe ntaddewo okuba omufuzi wa Yisirayeli ne Buyudaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mulyoka mwambuka nga mumugoberera, naye anajja n'atuula ku ntebe yange; kubanga ye anaaba kabaka mu kifo kyange: era mmutaddewo okuba omukulu wa Isirarei ne Yuda.