1 Kings 1:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Benaaya mutabani wa Yoyada n'ayanukula kabaka n'agamba nti: “Amiina! Omukama Katonda wa mukama wange kabaka bw'aba ayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Benaya mutabani wa Yekoyaada n’addamu kabaka nti, “Amiina! Mukama Katonda wa mukama wange kabaka akituukirize.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Benaya mutabani wa Yekoyaada n'addamu kabaka n'ayogera nti Amiina: Mukama, Katonda wa mukama wange kabaka, akikakase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Benaaya mutabani wa Yehoyaada n'addamu nti: “Kikolebwe bwe kityo. Era Mukama, Katonda wo, ayi mukama wange kabaka, akikakase.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Benaya mutabani wa Yekoyaada n'addamu kabaka n'ayogera nti Amiina: Mukama, Katonda wa mukama wange kabaka, ayogere bw'atyo.