1 Kings 1:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona Zadoki n'aserengeta ne Natani omulanzi, Benaaya mutabani wa Yoyada, Abakereti n'Abapeleti, ne bassa Solomoni ku nnyumbu ya kabaka Dawudi ne bamutwala mu Gikoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi, ne baserengeta nga bamuwerekera okugenda e Gikoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zadoki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi ne baserengeta ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya kabaka Dawudi ne bamuleeta e Gikoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'abakuumi ba kabaka Abakereti n'Abapeleti, ne beebagaza Solomooni ennyumbu ya Kabaka Dawudi ne bamuserengesa e Gihoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi ne baserengeta ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya kabaka Dawudi, ne bamuleeta e Gikoni.