1 Kings 1:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zadoki kabona n'addira ejjembe ly'omuzigo lye yaggya mu Weema n'asiiga Solomoni. Ne bafuuwa eŋŋombe, abantu ne baleekaana nti: “Kabaka Solomoni awangaale!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zadooki kabona n’aggya ejjembe ery’amafuta mu weema, n’afuka amafuta ku Sulemaani. Awo ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne baleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Kabaka Sulemaani awangaale.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zadoki kabona n'aggya ejjembe ery'amafuta mu Weema, n'afuka amafuta ku Sulemaani. Ne bafuuwa ekkondeere; abantu bonna ne boogera nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zaddooki kabona n'aggya mu Weema ya Mukama ejjembe eriteekebwamu omuzigo, n'agufuka ku Solomooni. Ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne basaakaanya nti: “Kabaka Solomooni awangaale!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zadooki kabona n'aggya ejjembe ery'amafuta mu Weema, n'afuka amafuta ku Sulemaani. Ne bafuuwa ekkondeere; abantu bonna ne boogera nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu.