1 Kings 1:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Adoniya na bonna abaali naye be yali ayise ne bawulira; baali bamaliriza bati okulya. Ne Yowabu bwe yawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'abuuza nti: “Oluyoogaano mu kibuga lwaki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adoniya n’abagenyi be bonna ne bawulira oluyoogaano bwe baali nga bamaliriza okulya. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly’ekkondeere, n’abuuza nti, “Ekibuga nga kiyoogaana?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Adoniya n'abagenyi bonna abaali naye ne baluwulira bwe baali nga bamala okulya. Awo Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'abuuza nti Okuyoogaana okwo kwonna mu kibuga kwaki?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Adoniya n'abagenyi be bonna be yayita, abaali naye, bwe baali nga bamaliriza okulya, ne bawulira oluyoogaano. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'abuuza nti: “Okuyoogaana okwo kwonna mu kibuga kwa ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Adoniya n'abagenyi bonna abaali naye ne baluwulira bwe baali nga bamala okulya. Awo Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'ayogera nn Eddoboozi lino ekibuga nga kiyoogaana lya ki?