1 Kings 1:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aba akyayogera, Yonatani, mutabani wa Abiyatari kabona, n'ajja. Adoniya n'amugamba nti: “Yingira, kubanga ggwe oli musajja mwesigwa, oteekwa okuba ng'oleese amawulire malungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yali ng’akyayogera laba, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n’atuuka. Adoniya n’ayogera nti, “Yingira kubanga omusajja omulungi nga ggwe ateekwa kuba ng’aleese mawulire malungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali ng'akyabuuza, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n'ajja: Adoniya n'ayogera nti Yingira; kubanga oli musajja mulungi, era oleese ebigambo ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'akyayogera, Yonataani mutabani wa Abiyataari kabona, n'ajja. Adoniya n'agamba nti: “Yingira, kubanga oli musajja mulungi, era n'amawulire g'oleese, malungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'akyayogera, laba, Yonasaani mutabani wa Abyasaali kabona n'ajja: Adoniya n'ayogera nti Yingira; kubanga oli musajja mulungi, era oleese ebigambo ebirungi.