1 Kings 1:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamutaddeko Zadoki kabona, Natani omulanzi, Benaaya mutabani wa Yoyada, Abakereti ne Abapeleti, ne bamuteeka ku nnyumbu ya kabaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era kabaka atumye Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi, okugenda naye nga bamwebagazza ennyumbu ya kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era kabaka atumye naye Zadoki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi, era amwebagaza ku nnyumbu ya kabaka:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atumye Zaddooki kabona ne Natani omulanzi, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'abakuumi ba kabaka Abakereti n'Abapeleti, ne batwala Solomooni, ne bamwebagaza ku nnyumbu ya kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kabaka atumye naye Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi, era bamwebagazizza ennyumbu ya kabaka: