1 Kings 1:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zadoki kabona ne Natani omulanzi ne bamusiiga omuzigo mu Gikoni abeere kabaka. Ne bambuka nga bava eyo nga bakuba emizira, ekibuga ne kiwuuma; eryo lye ddoboozi lye muwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni, era bambuse okuvaayo nga bajaguza, n’ekibuga kiwuumira ddala. Okwo kwe kuleekaana kwe muwulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Zadoki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni: era bambuse okuvaayo nga basanyuka n'okuwuuma ekibuga ne kiwuumira ddala. Eryo lye ddoboozi lye muwulidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, bamufuseeko omuzigo e Gihoni okuba kabaka, ne bavaayo ne bambuka mu kibuga nga basanyuka, ekibuga n'okuwuuma ne kiwuuma. Olwo lwe luyoogaano lwe muwulidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni: era bambuse okuvaayo nga basanyuka n'okuwuuma ekibuga ne kiwuumira ddala. Eryo lye ddoboozi lye muwulidde.