1 Kings 1:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaweereza ba kabaka ne bayagaliza omukisa mukama waabwe kabaka Dawudi nga bagamba nti: ‘Katonda wo asukkulumye erinnya lya Solomoni n'okusinga erinnya lyo, ne nnamulondo ye ebeere ya kitiibwa okusinga eyiyo.’ Ne kabaka n'avunnama mu kitanda kye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abakungu ba kabaka bazze okusanyukirako mukama waffe Kabaka Dawudi, nga boogera nti, ‘Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu n’okusinga eriryo era n’entebe ye ey’obwakabaka enkulu n’okusinga eyiyo!’ Era Kabaka akutamye ng’asinza ku kitanda kye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate abaddu ba kabaka bazze okusabira mukama waffe kabaka Dawudi nga boogera nti Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani eddungi okusinga erinnya lyo, era afuule entebe ye enkulu okusinga entebe yo: kabaka n'akutamira ku kitanda kye n'asinza nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekirala, abakungu bazze okulanya ewa mukama waffe Kabaka Dawudi, ne bagamba nti: ‘Katonda wo afuule Solomooni mututumufu n'okusinga ggwe, era obwakabaka bwa Solomooni bukulaakulane n'okusinga obubwo.’ Kabaka Dawudi ne yeebaliza ku kitanda kye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate abaddu ba kabaka bazze okusabira mukama waffe kabaka Dawudi nga boogera nti Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani eddungi okusinga erinnya lyo, era afuule entebe ye enkulu okusinga entebe yo: kabaka n'akutamira ku kitanda kye.