1 Kings 1:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna Adoniya be yali ayise, ne batya, ne basituka, buli omu n'agenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagenyi ba Adoniya bonna olwawulira ebyo ne beekanga nnyo, ne basituka ne basaasaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abagenyi ba Adoniya bonna be yayita ne batya, ne basituka, ne bagenda buli omu n'akwata lirye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abagenyi ba Adoniya bonna be yayita ne batya, ne basituka, ne bagenda buli omu n'akwata lirye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abagenyi ba Adoniya bonna ne batya, ne bagolokoka, ne bagenda buli muntu ewuwe.