1 Kings 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Adoniya mutabani wa Kaggiti yeesowolayo, n'agamba nti: “Nze nzija kubeera kabaka.” Ne yeefunira ebigaali n'abeebagazi, n'abasajja amakumi ataano ab'okumukulemberangamu nga badduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Adoniya mutabani wa Dawudi gwe yazaala mu Kaggisi ne yeegulumiza ng’ayogera nti, “Nze ndiba kabaka.” Ne yeetegekera amagaali n’abeebagala embalaasi, n’abasajja amakumi ataano ab’ebigere okuddukiranga mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi ne yeekulumbaza n'ayogera nti Nze ndiba kabaka: ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja ataano (50) okumukulemberangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omulangira Adoniya, nga nnyina ye Haggiti, ne yeekulumbaza, n'agamba nti: “Nze ndisikira obwakabaka!” Ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja amakumi ataano abaddusi okumukulemberangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi ne yeegulumiza ng'ayogera nti Nze ndiba kabaka: ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja ataano okuddukiranga mu maaso ge.