1 Kings 1:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Adoniya, olw'okutya Solomoni, n'asituka n'agenda ne yeekwata ku mayembe g'omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adoniya n’aggwaamu amaanyi olwa Sulemaani okulya obwakabaka, era n’agenda ne yeekwata ku mayembe g’ekyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Adoniya olw'okutya ennyo Sulemaani n'asituka n'agenda ne yeekwata ku mayembe ag'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Adoniya olw'okutya ennyo Solomooni, n'asituka n'agenda, ne yeekwata ku mayembe g'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Adoniya n'atekemuka olwa Sulemaani; n'agolokoka n'agenda n'akwata ku mayembe g'ekyoto.