1 Kings 1:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babuulira Solomoni nti: “Adoniya wuuli atidde kabaka Solomoni, yeekutte ku mayembe g'omwaliiro, agamba nti: ‘Olwa leero kabaka Solomoni andayirire nti tatte muweereza we na kitala.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne babuulira Sulemaani nti, “Adoniya atidde kabaka Sulemaani era yeekutte ku mayembe g’ekyoto. Agambye nti, ‘Kabaka Sulemaani andayirire leero nti tajja kutta muddu we n’ekitala.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babuulira Sulemaani nti Adoniya akutidde, ayi kabaka Sulemaani, era wuuli yekutte ku mayembe ag'ekyoto, ng'ayogera nti Kabaka Sulemaani andayirire olwaleero nga tajja kunzita nze omuweereza we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babuulira Solomooni nti: “Adoniya akutidde, ayi Kabaka Solomooni, era wuuli yeekutte ku mayembe g'alutaari ng'agamba nti: ‘Kabaka Solomooni andayirire olwaleero nga tajja kunzita, nze omuweereza we!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babuulira Sulemaani nti Laba, Adoniya atekemukidde kabaka Sulemaani: kubanga, laba, akutte ku mayembe g'ekyoto, ng'ayogera nti Kabaka Sulemaani andayirire leero nga tajja kutta muddu we n'ekitala.