1 Kings 1:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'addamu nti: “Bw'aneeyisa obulungi, n'oluviiri olumu luti teruumuve ku mutwe kugwa ku ttaka; naye bw'anaaba ow'omutawaana, wa kufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’addamu nti, “Bw’alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe na lumu oluligwa wansi; naye bw’alirabikamu ekibi, alifa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani n'agamba nti Bw'aneeyisa obulungi, tewali wadde oluviiri lwe olumu olunagibwa ku mutwe gwe. Kyokka bw'ali zuulibwa nga yeeyisa bubi, olwo alittibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni n'agamba nti: “Bw'aneeyisa obulungi, tewali wadde oluviiri lwe olumu olunaggyibwa ku mutwe gwe. Kyokka bw'alizuulibwa nga yeeyisa bubi, olwo alittibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani n'ayogera nti Bw'alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe oluligwa wansi: naye obubi bwe bulirabika ku ye, alifa.