1 Kings 1:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Solomoni n'atumya, ne bamuwanulayo ku mwaliiro. Bwe yayingira, n'avunnamira kabaka Solomoni, Solomoni n'amugamba nti: “Genda ewuwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka Sulemaani n’atuma abasajja, ne baggya Adoniya ku kyoto. N’ajja n’avuunamira kabaka Sulemaani, Sulemaani n’amugamba nti, “Weddireyo ewuwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Sulemaani n'atuma, ne baggya Adoniya ku kyoto. Adoniya n'ajja n'avuunamira kabaka Sulemaani. Sulemaani n'amugamba nti Genda ewuwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Solomooni n'atuma, ne baggya Adoniya ku alutaari. Adoniya n'ajja n'avuunamira Kabaka Solomooni. Solomooni n'amugamba nti: “Genda ewuwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Sulemaani n'atuma, ne bamuserengesa okuva ku kyoto. N'ajja n'avuunamira kabaka Sulemaani: Sulemaani n'amugamba nti Genda ewuwo.