1 Kings 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bulamu bwe kitaawe yali tamunakuwazangako mulundi na gumu ng'amubuuza nti: “Lwaki okoze kino oba kiri?” Era naye yali mulungi nnyo mu ndabika, era nga y'addirira Abusalomu mu buzaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaawe n’atamunenya ku mubuuza nti, “Lwaki weeyisa bw’otyo?” Adoniya yali alabika bulungi nnyo, nga y’adda ku Abusaalomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaawe n'atamunenyako n'akatono wadde okumubuuza ekimukozezza bw'atyo. Adoniya yali musajja mulungi nnyo; era ye yaddanga ku Abusaalomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaawe teyamunenyaako n'akatono, kumugamba nti: “Lwaki okola bw'otyo?” Adoniya oyo yali musajja mulungi nnyo mu ndabika ye, era ye yali muto w'omulangira Abusaalomu, era nga ye amuddako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So kitaawe yali tamunyiizanga n'akatono ng'ayogera nti Kiki ekikukozezza bw'otyo? era yali musajja mulungi nnyo; era ye yaddanga ku Abusaalomu.