1 Kings 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeebuuza ku Yowabu mutabani wa Zeruya ne Abiyatari kabona, ne bawagira Adoniya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adoniya yateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona, ne baamuwagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona okumuwagira, era ne bamuyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Adoniya n'ateesa ne Yowaabu mutabani w'omukazi ayitibwa Zeruyiya, era ne Abiyataari kabona, abo ne baba abawagizi be, abamuyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona: abo ne bamugoberera; Adoniya ne bamuyamba.