1 Kings 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Adoniya n'atambira endiga, ente, n'obuyana obusavuwaze okumpi n'Ejjinja ly'e Zokereti, eryali liriraanye Eni-Rogeli; n'ayita baganda be bonna, batabani ba kabaka n'abasajja bonna aba Yuda abaali abakungu ba kabaka;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adoniya n’attira endiga n’ente n’ebyassava awali ejjinja Zokeresi eririraanye Enerogeri, n’ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n’abakungu bonna aba Yuda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Adoniya n'atta endiga n'ente n'ebya ssava awali ejjinja Zokeresi eririraanye e Enerogeri: n'ayita baganda be bonna abaana ba kabaka, n'abasajja ba Yuda bonna abaddu ba kabaka:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu Adoniya n'aweerayo ekitambiro eky'endiga n'ente n'ennyana ezassava ku lwazi oluyitibwa olw'Emisota, okumpi ne Eni-Rogeli, n'ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n'abakungu ba kabaka bonna mu Buyudaaya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Adoniya n'attira endiga n'ente n'ebya ssava awali ejjinja Zokeresi eririraanye e Enerogeri: n'ayita baganda be bonna abaana ba kabaka, n'abasajja ba Yuda bonna abaddu ba kabaka: