1 Kings 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu miti egy'entoogo yakolamu empagi ez'okuwanirira Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka, era n'abajjamu ennanga n'entongooli eby'abayimbi. Emiti gy'entoogo egyenkana awo tegiddangayo kuleetebwa oba okulabibwako n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka yakozesa emitoogo okukola empagi za yeekaalu ya Mukama Katonda n’ez’olubiri lw’obwakabaka, n’okukola ennanga, n’entongooli z’abayimbi. Tewalabikanga mitoogo mingi bwe gityo n’okutuusa ku lunaku lwa leero.)
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'akozesa embaawo ezo okuzimba obukomera ku madaala ag'omu Yeekaalu n'ag'omu nnyumba ye. Era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Tewaddayo nate kuleetebwa mbaawo za mitoogo ziri ng'ezo, wadde okulabibwako mu Isiraeri n'okutuusa leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'akozesa embaawo ezo okuzimba obukomera ku madaala ag'omu Ssinzizo, n'ag'omu lubiri lwe. Era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Tewaayongera kujja mbaawo za mitoogo ziri ng'ezo, wadde okulabibwako mu Yisirayeli n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'afuula emitoogo empagi z'ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, n'ennanga n'entongooli z'abayimbi: tewajja mitoogo egifaanana bwe gityo so tegyalabika ne leero.