1 Kings 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Solomoni n'awa nnaabakyala w'e Saba byonna bye yayagala ne bye yamusaba, ng'oggyeeko ebyo bye yamuwa okuva mu nkuluze ya kabaka. N'afunyamu n'adda mu nsi ye wamu n'abaweereza be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Sulemaani n’awa kabaka omukazi ow’e Seeba byonna bye yayagala ne bye yasaba, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa okuva ku byobugagga bw’obwakabaka bwe. Oluvannyuma kabaka omukazi ow’e Seeba n’addayo mu nsi ye n’ekibiina ky’abantu be, be yajja nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa olw'ekisa kye ekya kabaka. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba n'addayo mu nsi ye n'abaddu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Solomooni n'awa kabaka omukazi ow'e Seeba byonna kabaka oyo omukazi bye yayagala, na buli kye yasaba, nga tobaliddeeko ebyo Kabaka Solomooni bye yayiiya ku bubwe okumuwa. Olwo kabaka oyo omukazi ow'e Seba n'asiibula, n'addayo mu nsi ye, wamu n'abaweereza be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa olw'ekisa kye ekya kabaka. Awo n'akyuka n'addayo mu nsi ye ye, ye n'abaddu be.