1 Kings 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zaabu eyaleeterwanga Solomoni buli mwaka ng'aweza obuzito bwa talenta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obuzito obwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwali ttani amakumi abiri mu ssatu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ezaabu kabaka Sulemaani gyeyafunanga mu mwaka ogumu, nga yenkana obuzito bwa talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaabu Solomooni gwe yafunanga omwaka, yawezanga kilo ng'emitwalo ebiri mu enkumi ssatu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ezaabu eyajja eri Sulemaani mu mwaka ogumu obuzito bwayo bwali talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,