1 Kings 10:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oggyeeko eyavanga mu basuubuzi ne ku ntwala y'abatunzi, n'eyaleetebwanga bakabaka b'omu Arabiya n'abaamasaza mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga tobaliddeeko musolo ogwawebwangayo abasuubuzi n’ab’ebyamaguzi, ate era n’ogwasoloozebwanga okuva ku bakabaka Abawalabu bonna ne bagavana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga tobaliddeeko oyo ow'omusolo ogusasulibwa abasuubuzi, n'empooza ku bitundibwa, n'oyo eyavanga mu bakabaka bonna ab'e Buwalabu, ne mu bafuzi b'ebitundu mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga tobaliddeeko oyo ow'omusolo ogusasulibwa abasuubuzi, n'empooza ku bitundibwa, n'oyo eyavanga mu bakabaka bonna ab'e Buwarabu, ne mu bafuzi b'ebitundu mu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutassaako eyo abasuubuzi gye baaleetanga n'abatunzi gye baatundanga ne bakabaka bonna ab'eggwanga ettabule n'abakulu b'ensi.