1 Kings 10:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era kabaka Solomoni yakola engabo ebikumi bibiri mu zaabu omukubeekube; beka lukaaga eza zaabu ze zaagenda ku ngabo emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Sulemaani yaweesa engabo ennene ebikumi bibiri mu zaabu, buli ngabo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Sulemaani n'aweesa engabo ennene bibiri (200) ezibikiddwako zaabu, nga buli ngabo ebikiddwako zaabu azitowa sekeri lukaaga (600).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Solomooni n'aweesesa engabo ennene ebikumi bibiri enkubireko zaabu, nga buli ngabo egendako zaabu azitowa kilo nga musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabaka Sulemaani n'aweesa obugabo bikumi bibiri bwa zaabu mpeese: buli kagabo n'akawaako sekeri za zaabu lukaaga.