1 Kings 10:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola engabo entonotono ebikumi bisatu eza zaabu omukubeekube; mina ebikumi bisatu ze zaagenda ku ngabo emu. Kabaka yabissa mu Lubiri lw'Ekibira kya Lebanoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakola n’engabo entono ebikumi bisatu, nga nazo za zaabu, buli ngabo nga ya kilo emu n’ekitundu eza zaabu. Ezo zonna kabaka yaziterekanga mu lubiri olwazimbibwa mu miti egyava mu kibira kya Lebanooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola engabo entono eza zaabu bisatu (300) nga buli ngabo ebikiddwako zaabu obuzito laateri satu: n'azitereka mu nnyumba eyitibwa ekibira kya Lebanooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aweesesa n'engabo entono ebikumi bisatu enkubireko zaabu, nga buli emu egendako zaabu azitowa kilo nga bbiri. Zonna n'aziteeka mu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola engabo ebikumi bisatu bya zaabu mpeese; buli ngabo n'agiwaako laateri ssatu: kabaka n'azitereka mu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni.