1 Kings 10:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamulondo yalina amadaala mukaaga; waggulu wa weesigamwa nga weekulungirivu; erudda n'erudda wa buli mukono gwayo ng'eriyo ebifaananyi by'empologoma; bbiri zaali ziyimiridde mu mbiriizi z'emikono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entebe ey’obwakabaka yalina amadaala mukaaga, waggulu waayo aweesigamwa nga weekulungirivu. Eruuyi n’eruuyi w’entebe waaliyo empologoma nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entebe eyo yaliko amadaala mukaaga, era nga emabega awesigamwa nneekulungirivu waggulu; era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi n'awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo amadaala mukaaga okutuuka ku ntebe eyo ey'obwakabaka, era yali nneekulungirivu waggulu ekyesigamibwako gye kikoma. Yaliko ekiteekebwako emikono eruuyi n'eruuyi, nga ku buli ludda lw'ekiteekebwako emikono, waliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entebe yaliko amadaala mukaaga, era entebe waggulu waayo yali nneekulunguivu ennyuma; era yaliko emikono eruuyi n'eruuyi awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono.