1 Kings 10:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yajja mu Yeruzaalemu n'entwala nnene nnyo: eŋŋamiya ezeetisse ebirungo, ne zaabu mungi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo, n'ajja ewa Solomoni, n'amugamba byonna ebyamuli ku mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yatuuka mu Yerusaalemi, n’ekibiina ky’abantu ekinene ennyo, n’eŋŋamira ezaali zeetisse ebyakaloosa, ne zaabu ennyingi ennyo, n’amayinja ag’omuwendo. Yanyumya ne Sulemaani ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ajja e Yerusaalemi ng'alina abaddu bangi nnyo n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi; awo bwe yajja eri Sulemaani, n'amubuuza ebyo byonna ebyali mu mutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yajja e Yerusaalemu n'ekibiina ky'abaweereza be kinene nnyo, n'eŋŋamiya ezeetisse ebyakaloosa ne zaabu mungi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Awo bwe yatuuka ewa Solomooni, n'amubuuza byonna bye yalina ku mutima gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja e Yerusaalemi ng'alina abaddu bangi nnyo n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi; awo bwe yajja eri Sulemaani, n'ateesa naye ebyo byonna ebyali mu mutima gwe.