1 Kings 10:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'empologoma kkumi na bbiri zaali ziyimiridde ku madaala, mukaaga ku buli ludda. Teri bwakabaka bulala bwali bukoleddwa kintu kifaanana kiti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Empologoma kkumi na bbiri zaali ku madaala mukaaga, eruuyi mukaaga n’eruuyi mukaaga. Tewaali ntebe ndala yonna ey’obwakabaka eyali ekoleddwa eri ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna mu biseera ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empologoma kkumi na bbiri (12) nga ziyimiridde eruuyi n'eruuyi ku buli ddaala ku madaala ago omukaaga, ku buli ddaala bbiri bbiri: tewaaliwo ntebe ya bwakabaka bwonna eyakolebwa nga efaanana nga eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo n'ebifaananyi ebirala, eby'empologoma kkumi na bbiri eziyimiridde, emu emu ku nkomerero ya buli ddaala erudda n'erudda w'amadaala ago omukaaga. Mu bwakabaka obulala bwonna, tewaaliyo ntebe ya bwakabaka eyakolebwa ng'efaanana ng'eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'empologoma kkumi na bbiri zaayimirira eruuyi n'eruuyi ku madaala omukaaga tewaali eyakolebwa mu bwakabaka bwonna okugifaanana.