1 Kings 10:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na byonna kabaka Solomoni mwe yanyweranga byalinga bya zaabu; ebikozesebwa byonna mu Lubiri lw'Ekibira kya Lebanoni byali bya zaabu omusengejje. Tewaali kikole mu ffeeza, kubanga mu budde bwa Solomoni ffeeza teyabalibwanga ng'eky'omuwendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikompe byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, ne byonna ebyali mu lubiri lwe olwakolebwa mu kibira kya Lebanooni. Tewali kyakolebwa mu ffeeza, kubanga ffeeza teyali ya muwendo nnyo mu biro ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba eyayitibwanga Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu ennongoose: tewaaliyo bya ffeeza; kubanga mu mirembe gya kabaka Sulemaani, feeza teyabalibwanga nga kintu eky'omuwendo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byonna ebya Kabaka Solomooni eby'okunyweramu, byali bya zaabu. Era ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni, byali bya zaabu omulongoose. Tewaaliyo bya ffeeza. Mu biseera bya Solomooni, ffeeza teyayitibwanga kintu kya muwendo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu nnongoofu: tewaali bya ffeeza; teyalowoozebwa nga kintu ku mirembe gya Sulemaani;