1 Kings 10:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Kabaka yalina empingu y'e Tarusisi ku nnyanja wamu n'empingu ya Kiramu, buli myaka esatu yakomangawo ng'ereese zaabu, ffeeza, amasanga, enkobe n'amazike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka yalina ebyombo ebya maguzi ku nnyanja ebyakozesebwanga awamu n’ebya Kiramu, ebyaleetanga zaabu, ne ffeeza, n’amasanga, n’enkobe n’enkima eza buli ngeri omulundi gumu mu buli myaka esatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka yalina ku nnyanja, empingu y'amaato eyagendanga e Talusiisi n'empingu ya Kiramu. Empingu eyo, buli myaka esatu yavanga e Talusiisi ng'ereeta zaabu ne ffeeza n'amasanga, n'enkobe n'ennyonyi muzinge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka yalina ku nnyanja, empingu y'amaato eyagendanga e Tarusiisi n'empingu ya Hiraamu. Empingu eyo, buli myaka esatu yavanga e Tarusiisi ng'ereeta zaabu ne ffeeza n'amasanga, n'enkobe n'ennyonyi eziyitibwa muzinge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kabaka yalina ku nnyanja empingu eya malikebu ey'e Talusiisi wamu n'empingu ya Kiramu; empingu ey'e Talusiisi yajjanga mulundi gumu buli myaka esatu ng'ereeta zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne bamuzinge.