1 Kings 10:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi yonna yanoonyanga okulaba ku Solomoni, bawulire amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi yonna yanoonyanga era yeesunganga okulaba ku Sulemaani n’okuwuliriza amagezi, Katonda ge yamuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna mu nsi yonna, ne bajjanga awali kabaka Sulemaani okwebuuza n'okuwulira amagezi ge, Katonda ge yamuwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu nsi yonna ne baagalanga okujja awali Solomooni okuwulira ebigambo eby'amagezi ge, Katonda ge yamuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi yonna ne banoonya amaaso ga Sulemaani okuwulira amagezi ge, Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.