1 Kings 10:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Misiri ekigaali baakigulangayo ku sekeli za ffeeza lukaaga, ate embalaasi ku sekeli kikumi mu ataano. Era baaziragiririzangayo bakabaka bonna ab'Abakitti n'Abaaramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggaali zaagulibwanga kilo musanvu eza ffeeza, na buli mbalaasi ng’egulibwa kilo emu n’ekitundu eza ffeeza mu Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasuubuzi ba kabaka Sulemaani baagulanga amagaali n'embalaasi okuva e Misiri; eggaali Sekeri lukaaga (600), embalasi Sekeri kikumi mu ataano (150). Bakabaka bonna ab'Abakiiti n'ab'Abasuuli bazigulanga ku basuubuzi ba Sulemaani abo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggaali erimu lyaggyibwanga mu Misiri ku bitundu lukaaga ebya ffeeza, n'embalaasi emu ku bitundu kikumi mu ataano. Bakabaka bonna ab'Abahiiti n'ab'e Siriya baazigulanga ku basuubuzi ba Solomooni abo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eggaali lyalinnyanga nga liva mu Misiri nga lijjirira sekeri lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bakabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bakabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe.