1 Kings 10:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'amuddamu ebibuuzo bye byonna; tewaaliwo kyakaluubirira kabaka kumunnyonnyola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani n’addamu ebibuuzo byonna, era tewaali na kimu ku byo ekyamuzibuwalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani n'addamu byonna bye yamubuuza. Tewaali kintu na kimu kyakaluubirira Sulemaani kunnyonnyola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni n'amuddamu byonna bye yamubuuza. Tewali kintu na kimu kyakaluubirira Solomooni kunnyonnyola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewaali kintu ekyakwekebwa kabaka ky'ataamutegeeza.