1 Kings 10:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emmere ey'oku mmeeza ye, entuula y'abakungu be, entereera y'abasumaami be n'ebyambalo byabwe, abasenero be, n'ebitambiro ebyokye bye yaweerezanga mu Kiggwa ky'Omukama, n'awuniikirira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n’engeri abakungu be gye baatuuzibwangamu, n’ennyambala y’abaddu be, n’abasenero be, n’ebiweebwayo ebyokebwa bye yawangayo mu yeekaalu ya Mukama, ne yeewunya nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe n'abasenero be n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu Yeekaalu ya Mukama ne yeewuunya nnyo n'awuniikirira n'atasigalamu mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, ennyambala yaabwe, n'abasenero be, n'ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba bye yawangayo mu Ssinzizo, ne yeewuunya nnyo n'awuniikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe n'abasenero be n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu nnyumba ya Mukama; kale nga temukyasigadde mwoyo mu ye.