1 Kings 10:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Saasooka kukkiriza okutuusa nze kennyini lwe nzize ne neerabirako n'amaaso gange. Mazima ebyambuulirwa tebituuka na kyakubiri; mu magezi n'obugagga okirira wala olugambo lwe nawulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ssakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe neesitukira ne nzija neerabireko n’agange. Kya mazima ddala nabulirwako kitundu butundu kyokka; kubanga amagezi go, n’obugagga bwo bisinga ku ebyo bye nawulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ssaabikkiriza, okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako na maaso gange. Ddala bye nawulira tebyenkana wadde ekimu eky'okubiri eky'ebyo bye ndabye. Amagezi go n'omukisa gwo bisinga ettutumo lye nnawulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye saabikkiriza, okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'agange. Era ddala bye nawulira tebyenkana wadde ekimu ekyokubiri eky'ebyo bye ndabye. Amagezi n'obugagga by'olina bisinga ettutumu lye nawulira ku byo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye sakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe najja amaaso gange ne gakiraba: era, laba, saabuulirwa kitundu: amagezi go n'omukisa gwo bisinga ettutumo lye nnawulira.