1 Kings 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo agulumizibwe oyo eyakusiima n'akuteeka ku nnamulondo ya Yisirayeli. Kubanga Omukama yayagala Yisirayeli emirembe gyonna, kyeyava akussaawo obeere kabaka, okole ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeebazibwe Mukama Katonda wo akusanyukira era akutadde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri. Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, akufudde kabaka, okukuuma obwenkanya n’obutuukirivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wo yeebazibwe eyakusiima n'akufuula kabaka wa Isiraeri: kubanga Mukama yayagala Isiraeri emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okukola eby'ensonga n'eby'obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Katonda wo atenderezebwe, eyalaga bw'akusiimye, n'akufuula kabaka wa Yisirayeli. Kubanga Mukama yayagala nnyo Yisirayeli, kyeyava akufuula kabaka, olamulenga mu mazima ne mu bwenkanya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wo yeebazibwe akusanyukira okukuteeka ku ntebe ya Isiraeri: kubanga Mukama yayagala Isiraeri emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okukola eby'ensonga n'eby'obutuukirivu.