1 Kings 11:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka Solomoni yakwana abakazi nkumu abagwira: muwala wa Faraawo yennyini, abakazi Abamowabu, Abammoni, Abeedomu, Abasidoni, n'Abakitti,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, n’Abamoni, n’Abayedomu, n’Abasidoni, n’Abakiiti, ng’okwo kw’ogasse muwala wa Falaawo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Sulemaani n'ayagala abakazi bangi bannamawanga omwali ne muwala wa Falaawo, era n'abakazi Abamowaabu n'Abamoni n'Abaedomu n'Abasidoni n'Abakiiti;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Solomooni n'ayagala abakazi bangi abagwira, omwali ne muwala wa kabaka w'e Misiri, n'abakazi Abamowaabu, n'Abammoni, n'Abeedomu, n'Abasidoni, n'Abahiiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabaka Sulemaani n'ayagala abakazi bangi bannaggwanga wamu ne muwala wa Falaawo, abakazi ab'oku Bamowaabu n'Abamoni n'Abaedomu n'Abasidoni n'Abakiiti;