1 Kings 11:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwakabaka bwonna sijja kubukuyuzaako, wabula ekika kimu kye nnaawa mutabani wo olw'okubeera Dawudi omuweereza wange ne Yeruzaalemu kye nalonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye sirimuyuzaako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa omwana wo ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange era ku lwa Yerusaalemi kye nneeroboza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimulekera Ekika kimu ku lwa Dawudi omuweereza wange, ne ku lwa Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye siriyuzaako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa omwana wo ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange era ku lwa Yerusaalemi kye nneeroboza.