1 Kings 11:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Luli Dawudi bwe yawangula Abeedomu, Yowabu omuduumizi w'eggye bwe yagendayo okuziika abaali battiddwa, yaleka asse buli musajja mu Edomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emabegako Dawudi bwe yali alwana ne Edomu, Yowaabu omuduumizi w’eggye eyali agenze okuziika Abayisirayiri abaali battiddwa, yasigalayo n’atta abasajja bonna mu Edomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emabegako, Dawudi bwe yali mu Edomu, Yowaabu omuduumizi w'eggye n'agenda okuziika abattibwa, era n'atta buli musajja mu Edomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emabegako, Dawudi bwe yali mu Edomu, Yowaabu omuduumizi w'eggye n'agenda okuziika abattibwa, era n'atta buli musajja mu Edomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olwatuuka Dawudi bwe yali mu Edomu ne Yowaabu omukulu w'eggye ng'ayambuse okuziika abafu era ng'asse buli musajja mu Edomu;