1 Kings 11:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Yowabu ne Yisirayeli yenna baamalayo emyezi mukaaga okutuusa nga bawemmense buli musajja mu Edomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’Abayisirayiri bonna be yagenda nabo ne babeera eyo okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe baasaanyaawo abasajja bonna mu Edomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'Abaisiraeri bonna be yali nabo, baamalayo emyezi mukaaga, era mu kiseera ekyo, mwe battira buli musajja na buli mwana ow'obulenzi mu Edomu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'Abayisirayeli bonna be yali nabo, baamalayo emyezi mukaaga, era mu kiseera ekyo, mwe battira buli musajja na buli mwana ow'obulenzi mu Edomu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga Yowaabu ne Isiraeri yenna baamalayo emyezi mukaaga okutuusa lwe yamalawo buli musajja mu Edomu;)