1 Kings 11:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ab'omu mawanga Omukama ge yagambirako Abayisirayeli nti: “Temuwasaŋŋananga nabo, kubanga tewali kubuusabuusa bagenda kukyamya emitima gyammwe, mugoberere balubaale baabwe.” Naye bano Solomoni yabeesibako mu kubaagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ng’alabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga abaggya ku mawanga ago, Mukama ge yagamba Abaisiraeri nti Temuufubiriganwenga nabo, kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe kusinza bakatonda baabwe, naye Sulemaani n'abagaala ne yeegatta nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku b'amawanga ago, Mukama yali agambye Abayisirayeli nti: “Temuufumbiriganwenga nabo, kubanga tebalirema kuwugula mitima gyammwe kusinza balubaale baabwe.” Solomooni ne yeegatta nabo, n'abaagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku mawanga Mukama ge yagambako abaana ba Isiraeri nti Temugendanga mu bo so tebajjanga bo mu mmwe: kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe: Sulemaani ne yeegatta nabo ng'abaagala.