1 Kings 11:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muganda wa Takupenesi n'amuzaalira omwana omulenzi Genubati. Takupenesi omwana yamukuliza mu lubiri lwa Faraawo; Genubati yabeeranga wa Faraawo wamu n'abaana be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muganda wa Tapenesi n’azaalira Kadadi omwana wabulenzi n’amutuuma Genubasi, era Tapenesi n’amutwala mu lubiri okumulabirira. Genubasi n’akulira eyo wamu n’abaana ba Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muganda wa Tapenesi n'azaalira Kadadi omwana ow'obulenzi Genubasi. Tapenesi n'akolera mu lubiri omukolo ogw'okumuggya ku mabeere. Genubasi n'abeera mu lubiri lwa Falaawo wamu n'abaana ba Falaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muganda wa Tapaneesi n'azaalira Hadadi omwana ow'obulenzi Genubati. Tapaneesi n'akolera mu lubiri omukolo ogw'oku muggya ku mabeere. Genubati n'abeera mu lubiri lwa kabaka w'e Misiri wamu n'abaana ba kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo muganda wa Tapenesi n'amuzaalira Genubasi mutabani we Tapenesi gwe yaggira ku mabeere mu nnyumba ya Falaawo: Genubasi n'abeera mu nnyumba ya Falaawo mu batabani ba Falaawo.