1 Kings 11:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Adadi bwe yali mu Misiri n'awulira nga Dawudi agalamidde ne bajjajjaabe, nga ne Yowabu omuduumizi w'eggye yafa, n'agamba Faraawo nti: “Ndeka, nzire mu nsi yange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kadadi bwe yali mu Misiri, n’awulira nti Dawudi yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nga ne Yowaabu omuduumizi w’eggye yafa, n’agamba Falaawo nti, “Ka nzireyo ewaffe mu nsi yange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kadadi bwe yawulirira mu Misiri nga Dawudi akisizza omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, era nga ne Yowaabu omuduumizi w'eggye afudde, n'agamba Falaawo nti Ka ŋŋende, nzireyo mu nsi y'ewaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hadadi bwe yawulira mu Misiri nga Dawudi akisizza omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, era nga ne Yowaabu omuduumizi w'eggye afudde, n'agamba kabaka w'e Misiri nti: “Ka ŋŋende, nzireyo mu nsi y'ewaffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kadadi bwe yawulirira mu Misiri nga Dawudi yeebakidde wamu ne bajjajjaabe, era nga Yowaabu omukulu w'eggye ng'afudde, Kadadi n'agamba Falaawo nti Ka ŋŋende ntuuke mu nsi y'ewaffe.