1 Kings 11:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'amubuuza nti: “Kyova onoonya okudda mu nsi yo, ewange obuliddwa ki?” Naye Adadi n'addamu nti: “Tewali; naye nkwegayiridde, ndeka ŋŋende.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’amubuuza nti, “Kiki ky’otofunye wano, ekikwagaza okuddayo mu nsi yo?” Kadadi n’amuddamu nti, “Tewali, naye nzikiriza ŋŋende.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'amubuuza nti Kiki ky'ojula ng'oli nange, ekikwagaza okuddayo mu nsi y'ewammwe? Kadadi n'addamu nti Tewali, naye era ndeka ŋŋende.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amubuuza nti: “Kiki ky'ojula ng'oli nange, ekikwagaza okuddayo mu nsi y'ewammwe?” Hadadi n'addamu nti: “Tewali, naye era ndeka ŋŋende.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Falaawo n'amugamba nti Naye kiki ekyakubula ng'oli nange n'okwagala n'oyagala, laba, okugenda mu nsi y'ewammwe? N'addamu nti Tewali kintu: naye leka mmale gagenda.