1 Kings 11:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Adadi n'abaleetera akabi kanene. Yali wa bulabe eri Yisirayeli; yafuganga Edomu. Rezoni yali mulabe wa Yisirayeli mu budde bwonna obwa Solomoni; yafugiranga mu Aramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali mulabe wa Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwa Sulemaani, ng’okwo kw’otadde emitawaana Kadadi gye yaleetera Isirayiri. Lezoni n’addukira mu Alamu, era n’abeera mulabe wa Isirayiri omuzibu ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lezoni n'aba mulabe wa Isiraeri mu mulembe gwa Sulemaani gwonna. Okwo kw'ogatta eby'obulabe Kadadi bye yakolanga, Lezoni n'akyawa Isiraeri, ng'olwo y'afuga Obusuuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aba mulabe wa Yisirayeli mu mulembe gwa Solomooni gwonna. Okwo kw'ogatta eby'obulabe Hadadi bye yakolanga, Rezoni n'akyawa Yisirayeli, ng'olwo ye kabaka wa Siriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aba mulabe eri Isiraeri emirembe gyonna egya Sulemaani obutassaako bubi Kadadi bwe yakola: n'akyawa Isiraeri n'afuga Obusuuli.