1 Kings 11:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yerobowamu mutabani wa Nebati Omwefurayimu ow'e Zereda yajeemera kabaka. Yali muweereza wa Solomoni; nnyina yali mukazi nnamwandu, nga ye Zeruwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow’e Zereda, nnyina nga ye nnamwandu wa Zeruwa, ate nga y’omu ku bakungu ba Sulemaani, n’ajeemera kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow'e Zereda, omuddu wa Sulemaani, nnyina ye Zeruwa eyali nnamwandu, naye n'ajeemera kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ow'e Zereda mu Efurayimu, nnyina nga nnamwandu erinnya lye Zeruuwa, naye n'ajeemera Kabaka Solomooni, mukama we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow'e Zereda, omuddu wa Sulemaani, nnyina erinnya lye Zeruwa namwandu, era naye n'ayimusiza kabaka omukono.