1 Kings 11:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu mu budde obwo Yerobowamu yali afuluma Yeruzaalemu, Akiya omulanzi w'e Silo n'amusisinkana mu kkubo. Yali yeebisse omunagiro omupya; baali bwababiri ku ttale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ng’ava mu Yerusaalemi, n’asisinkana Akiya nnabbi w’e Siiro ng’ayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ava mu Yerusaalemi, nnabbi Akiya Omusiiro n'amusanga mu kkubo; era Akiya yali ayambadde omunagiro omuggya; awo bombi ne baba bokka ku ttale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, mu kiseera ekyo, Yerobowaamu bwe yali atambulako ng'ava e Yerusaalemu, omulanzi Ahiya ow'e Siilo n'amusanga mu kkubo, bombi ne baba bokka mu ttale. Ahiya yali ayambadde omunagiro omuggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yava mu Yerusaalemi, nnabbi Akiya Omusiiro n'amusanga mu kkubo; era Akiya yali ayambadde ekyambalo ekiggya; awo bombi ne baba bokka ku ttale.