1 Kings 11:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olw'okubeera omuweereza wange Dawudi ne Yeruzaalemu, ekibuga kye neeroboza mu bika byonna ebya Yisirayeli, ajja kusigaza ekika kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’omuddu wange Dawudi n’ekibuga Yerusaalemi, kye neerondera mu bika byonna ebya Isirayiri, alisigazaako ekika kimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Sulemaani alisigazza ekika kimu ku lw'omuddu wange Dawudi ne ku lwa Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni alisigaza Ekika kimu ku lw'omuweereza wange Dawudi, ne ku lwa Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza mu nsi omuli Ebika bya Yisirayeli byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(naye aliba n'ekika kimu ku lw'omuddu wange Dawudi ne ku lwa Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri:)