1 Kings 11:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensonga, kubanga nze yanvaako n'asinza Asutoreti, lubaale omukazi ow'Abasidoni, ne Cemosi lubaale ow'Abamowabu, ne Moleki lubaale w'Abammoni, n'atatambulira mu makubo gange, n'atakola kituufu mu maaso gange, era n'atatuusa mateeka gange na biragiro byange nga kitaawe Dawudi bwe yakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga banvudeko ne basinza Asutaloosi katonda omukazi ow'Abasidoni ne Kemosi katonda wa Mowaabu ne Mirukomu katonda w'abaana ba Amoni; so tebatambulidde mu makubo gange okukola ebiri mu maaso gange ebirungi n'okukwata amateeka gange n'emisango gyange nga Dawudi kitaawe bwe yakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kiriba bwe kityo, kubanga banvaako ne basinza Asitoreeti lubaale omukazi ow'Abasidoni, ne Kemosi, lubaale wa Mowaabu, ne Milukomu, lubaale w'Abammoni, ne batannywererako kukola bye nsiima, n'okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange nga Dawudi kitaawe wa Solomooni bwe yakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga bandese ne basinza Asutaloosi katonda omukazi ow'Abasidoni ne Kemosi katonda wa Mowaabu ne Mirukomu katonda w'abaana ba Amoni; so tebatambulidde mu makubo gange okukola ebiri mu maaso gange ebirungi n'okukwata amateeka gange n'emisango gyange nga bwe yakolanga Dawudi kitaawe.