1 Kings 11:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwakabaka bwonna sijja kubuggya mu mikono gye, nzija kumuleka ng'afuga ennaku zonna ez'obulamu olw'okubeera Dawudi omuweereza wange gwe nalonda, eyakwata ebiragiro byange n'amateeka gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye Sulemaani sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimuleka nga y’afuga ennaku zonna ez’obulamu bwe olw’omuddu wange Dawudi, gwe nalonda era eyagondera amateeka n’ebiragiro byange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka siriggya ku Sulemaani bwakabaka bwe bwonna; naye ndimuleka n'afuga ennaku zonna ez'obulamu bwe ku lwa Dawudi omuddu wange gwe nnalonda kubanga yakwata ebiragiro byange n'amateeka gange:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka siriggya ku Solomooni bwakabaka bwe bwonna, era ndimuleka n'afuga okutuusa lw'alikisa omukono, ku lwa Dawudi omuweereza wange gwe neeroboza, era eyakwata ebiragiro byange n'amateeka gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye siriggya bwakabaka bwonna mu mukono gwe: naye ndimufuula omukulu ennaku zonna ez'obulamu bwe ku lwa Dawudi omuddu wange gwe nnalonda kubanga yakwata ebiragiro byange n'amateeka gange: